Okulangirira Obuvunaanyizibwa Bwabantu obw’awamu
Kyusa
Ebiruubirirwa ebitegekeddwa okukyusa n’okukuuma.

Ebiruubirirwa Ebitegekeddwa mu Kutumbula Omutindo Gw’obulamu N’okukendeeza Okubonaabona
-
Okutegeera ebiyinza okuvaamu ngatukoledde wamu.
-
Okukuuma enkola zeby’obulamu n’omugaso oguzirimu obutonooneka.
-
Okukuuma eby’obutonde ebisinga obukulu n’ebyobuwangwa binnansangwa.
-
Okukendeeza obutwa n’okukuuma enkola eziriwo mu bwenkanya.
-
Fuba okulaba nti tewali muntu abonaabona singa ebikozesebwa bibaawo okumalawo okubonaabona okwo.
-
Nyonnyola ebituukiddwako n’enkola ezisinga wamu n’obubaka obukkirizika.
-
Beera avunaanyizibwako era omwerufu kubituukiddwako oba ebitatuukiddwako

Okusalawo
Fuga era okkirize eddembe n’ekkomo okusinziira kumigaso.
Mubeere Abatuuze Abamanyi era Mukole Okusalawo Okwesigika
-
Ziyiza obutabanguko era omalewo obutakkanya mu ddembe.
-
Kola okusalawo okwesigika okumala eri obulamu bwaffe n’emirimu.
-
Tegeera ebiva mukusalawo okwabulilunaku.
-
Beera mu bulamu obubeezawo ensi yona.
-
Soma kunsi yona n’ebikwata kubantu.
-
Soma Ku bantu abalala, ebitundu ebirara, n’ebitundu byaffe.
-
Yamba mu kukwataganya okusalawo okwa ssekinoomu n’okwolukale kulw’okufunira awamu.

Obusobozi
Tondawo eby’omugaso ate oggyewo eby’obulabe
Tondawo Enkola ezisoboka era Ezimala Okutuukiriza Ebiruubirirwa byaffe
-
Gabira buli mwana omutindo gwebyenjigiriza era otumbule n’ebyobulamu obulungi.
-
Tondawo omukisa gw’okutuukiririzaamu emirimu egyisasula okubeezaawo.
-
Wanirira emirimu gyaffe egyisuubirwa mukibuga era obanje e ddembe lyaffe.
-
Kozesa ebikozesebwa ebiriwo mu butono n’okulowooza ewatali kwonoona.
-
Tondawo era osige mu nkola n’ebitundu okusobola okutukiriza ebiruubirirwa byaffe.
-
Menyamenya Enkola ezireeta obulabe oba eziremesa ebiruubirirwa ebigabanyiziddwa.
-
Kulaakulanya amaanyi agasoboka agagabanyiziddwa, ebyobugagga eby’ensibo era eby’omugaso.
Ebitundu Mukwatagane ng’ensi nga mutondawo ebintu eby’enjawulo

Twefeeko era buli omu tumuyise bulungi
-
Twekuume obutafuna bulabe ngatuyita mu kwetaasa.
-
Kulakulanya ebyokwerabirira mu bwongo n’omubiri mungeri esaanidde.
-
Labirira abo abatasobola kwerabirira oba abatwalibwa nga abatalina mulamwa
-
Kola osobole okwewala obwavu, enjala, okutulugunyizibwa n’okubonaabona.
-
Abantu abenjawulo ku ffe bawe ekitiibwa era obalabirire.
-
Tumbula obwenkanya mu kikula ate okendeezen’obutali bwenkanya obulala.
-
Fuba okukolera awamu n’ebanno muvuganye ku bigobererwa ebigabanyiziddwa.